1 Chronicles 8

Ekika kya Benyamini

1 aBenyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye,
Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;
2Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.
3 bBatabani ba Bera baali
Addali, ne Gera, ne Abikudi,
4 cne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa 5ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.
6 dBazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:
7Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.
8Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala. 9Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu, 10ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe. 11Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.
12 eBatabani ba Erupaali baali
Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde,
13 fBeriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.
14Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi, 15ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi 16ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,
17ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi, 18ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.
19Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, 20ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, 21ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.
22Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, 23ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, 24ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, 25Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.
26Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, 27ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.
28Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.

29 gYeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni,
ne mukyala we ye yali Maaka.
30Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu, 31ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri 32ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
33 hNeeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
34 iMutabani wa Yonasaani yali
Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.
35Batabani ba Mikka baali
Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
36Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza. 37Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri.
38Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba
Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.
39Batabani ba muganda we Eseki baali
Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu.
40 jBatabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala.
Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.
Copyright information for LugEEEE